THIS IS MY LINEAGE
Erinya Lyange Nze Mulangira Nsubuga Ronnie,
Mutabani wo’ omugenzi Damasus Mayanja eyebaase e Busunjju.
Ndi Muzzukulu wa Steven Ssemuwemba eyebase e Kamwaye Busiro
Era ndi Muzukulu wa Ssajjakkambwe
Nva Muluggya lwa Sseddunga Mawale e Bulemeezi
Mulunyiriri lwa Kiberu Sserwajaokwota Entebbe (Buyira) Busiro
Nva Mumutuba gwa Kayibattaka Entebbe (Buyira)
Mu Ssiga Lya Mugula Entebbe
Nva mu Kasolya ka Nankere e kyanjove -Bukerekere -Busiro
Neddilla Mmamba Kakoboza e Nnangira ela annansangwa
Ndi wakika ekirangira,era omukerekere
Akabbiro kange Ggongolo Nakawuka
Omubala gwaffe guvunga nti
“Ntegeerezza,Ntegeerezza Abataka,Abalangira,nabambejja mujje tudde e kyanjove tuteeseze O ‘buganda Nabigoto Samba Egotoo,Nabigoto samba egotto”
Nzalibwa Omulungi Maama Namazzi Goretti Mayanja Eyeddila Mpologoma
Muzukulu wa Namugguzi Elwadda Kyaddondo
FFe bazzukulu ba Nankere tuva muluse lwa Kabaka Tonda era Kyetuva tubeera Abalangira.
Ffe nga mubwennyi bwa Ssabasajja Kabaka tetweyala,ffe tuwera buwezzi.
Omuzaana anfumbira ye Nankinga Catherine Nsubuga nga ono Muzzukulu wa Walusimbi E Bakka mu Busiro
Nze nnyini kitongole e kya Crystal Models Africa
MPANGA LIRA Kasangati,Kazinga ERa Ndi Mukatuuliki. Ssabasajja Kabaka Wangala